Thursday, September 1, 2016

Okwogera kw'Omulabirizi Henry Katumba nga atuuzibwa e Kako

“Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n’ebibala byammwe bibeerengawo kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.”

Ab’oluganda,

Mbanirizza nnyo n’okubalamusa mwenna mu linnya ly’Omulokozi waffe Yesu Kristo ku lunaku luno nga 28 Muwakanya, 2016 olw’Okwawulibwa n’Okutuuzibwa kwaffe ku ntebe ey’obukulembeze bw’Obulabirizi bwa West Buganda.  Mukama yebazibwe!

Omulabirizi ne Maama nga bakatuuzibwa
Omutima gwange gutendereza Mukama, era n’amugulumizanga n’okwebaza olw’omukisa gwe yatuwa okuweereza mu Kkanisa ye. Mukyala wange n’abaana baffe tubebaza nnyo olw’okukkiriza ne mujja ku mukolo guno ogw’ebyafaayo nga bwe mwayitibwa.

Ssabasajja ne Maama Nnabagereka mutuwadde nnyo ekitiibwa!!

EBITONOTONO EBINFAAKO
Nze Henry Katumba-Tamale. Nazaalibwa nga 28 Mugulansigo, 1960 e Kansanga Kyaddondo. Bazadde bange ye mugenzi Ssalongo James Ssemukwano Ssekyalo ne Nnalongo Virginia Naggayi. Neddira Nkima era ndi Muzzukulu wa Mugema. Nabatizibwa era ne nzissibwako emikono mu Kkanisa y’Omutukuvu Sitefano e Kisugu.

Okwogera kw'Omulabirizi Katumba
Nasomera Kisugu ne St. Peter’s Nsambya Primary Schools; ne Modern Sen. Sec. School.
Nakolerako mu Kitongole kya Government ekisolooza emisolo ne mu Ministry y’Abakozi.

Mu kutendekebwa mu Buweereza bw’Ekkanisa nasomera mu Uganda Martyrs’ Seminary-Namugongo; Bishop Tucker Theological College, Mukono gye nafunira ddiguli mu by’Eddiini (MAK) ate ne mu ttendekero lya UNISE e Kyambogo gye nabangulirwa mu kubudaabuda abantu abalina obulemu.

Nakkiriza Yesu Kristo okuba Omulokozi wange mu mwezi gwa Muwakanya 1984 e Nateete, Obulabirizi bw’e Namirembe bwe bwali buggulawo okubuulira Enjiri ku mutwe: “Nze Kkubo, n’Amazima, n’Obulamu” (Yok. 14:6).

Omulabirizi w’e Namirembe Misaeri Kauma (RIP) yanteekawo nga Omudiikoni nga 14 Nteenvu, 1986 ate n’Enjawulibwa ku Bukkadde bw’Ekkanisa nga 27 Museenene, 1988 mu Kkanisa Lutikko e Namirembe.

Twafumbiriganwa ne mukwano gwange Elizabeth Julia nga 12 Nteenvu, 1987 mu Lutikko e Namirembe era Katonda atuwadde abaana bataano; n’abalala bangi batuwadde okulera.
     ⇒             Mwesigwa Kisaakye Jonathan Sekiziivu
     ⇒             Mwebaza Maria Allen Ntongo
     ⇒             Ateesabulungi Emmanuel Meshach Kabugo
     ⇒             Kiwummulo Jeremiah Daniel Tamale
     ⇒             Mirembe Sarah Edith Namuli.
Mpeerezza nga Omubuulizi, Omudiikoni, Omukadde w’Ekkanisa mu bifo ebitali bimu nga bwe  biragiddwa wano:
     ⇒             St. John’s Kawuku, Ggaba
     ⇒             Obusumba bw’e Masajja Kyabaggu
     ⇒             Obusumba bw’e Kibanga mu bizinga by’e Ssese
     ⇒             Lutikko y’Omutukuvu Pawulo e Namirembe
     ⇒             Ebitongole eky’Abavubuka, eky’Enjiri n’Amakolero
     ⇒             Obusumba bw’e Bweyogerere
     ⇒             Bishop Hannington Theological Institute, Mombasa, Kenya
     ⇒             Uganda Martyrs’ Seminary, Namugongo
     ⇒             Uganda Christian University, Mukono
     ⇒             Office y’Omulabirizi w’e Namirembe, n’Obusumba bw’e Kamuli.
Logo of West Buganda Diocese

OKWEBAZA
Okusookera ddala nebaza Katonda eyandowooza okuba omwesigwa n’ampitira Obuweereza bw’Ekkanisa emyaka 34 egiyise. Mu kisa kye ekitagerekeka n’andokola era  kaakano ansaanyiza okuweereza nga Omulabirizi!
Nyongera okumwebaza olw’ebirungi byonna bye yawa Obulabirizi buno ebiyambye ennyo mu kukola omulimu gwe okuva lwe bwatondebwawo mu 1960.
 
Omulabirizi Katumba nga assa omukono ku kirayiro ky'Obulabirizi
Ku lwange ne Mukyala wange wamu n’abennyumba yange bonna, nnebaza nnyo Katonda olw’obukulembeze n’okulerebwa okwabaweereza bano: Omugenzi Rev. Godfrey Charles Bazira eyali Omukulu wa Uganda Martyrs’ Seminary e Namugongo, eyatemulwa mu bukambwe mu 1984; omugenzi Rt. Rev. Misaeri ne Maama Geraldine Kauma; Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Rt. Rev. Samuel ne Maama Allen Balagadde Ssekkadde; Rt. Rev. Julius Robert ne Maama Rose Kalu, ACK Mombasa; Rt. Rev. Samson ne Maama Agatha Mwaluda, ACK Taita-Taveta; Rt. Rev. Wilberforce ne Maama Faith Kityo Luwalira, Namirembe; Rt. Rev. Jackson ne Maama Perusi Matovu, Central Buganda; Rt. Rev. Stephen ne Maama Margaret Kaziimba, Mityana Diocese;  Ba Ssabalabirizi abawummula Rt. Rev. Dr. Livingstone ne Maama Ruth Nkoyooyo; wamu ne Rt. Rev. Henry Luke ne Maama Phoebe Orombi abaweerezza naffe ebbanga eddene, olw’okwagala n’obunyiikivu bwammwe ebituyambye ennyo mu buweereza n’okuyitibwa  kwaffe.
 
Mukama abawe omukisa
Ku abo twongerako okwebaza ba Ssabadikoni, ba Canon, Abawule, Ababuulizi, Abakristaayo n’abantu ba Katonda ab’omu Bulabirizi bw’e Namirembe, Mukono, Kampala, Mombasa ne Taita-Taveta – Kenya olw’obuwagizi n’omukwano bye mutulaze; Rev. Canon Dr. John Senyonyi n’abaweereza bonna mu Uganda Christian University; Omw. John Fred Kazibwe n’abaweereza bonna mu Mengo Senior School olw’obumu n’enkolagana ennungi bye tubadde nabyo.
Era wano we tusabira twebaze nnyo Omulabirizi Jackson ne Maama Perusi Matovu aba Central Buganda Diocese ababadde bakuuma Obulabirizi, era abaayisa Obulabirizi buno mu kiseera eky’okunoonya Omulabirizi omugya.
Twebaza nnyo n’Abalabirizi abalala bonna abatusooka okuweereza, naffe ka tuzimbire ku musingi Kristo gwe y’asima.

Twebaza Abawule, Ababuulizi n’Abakristaayo bonna aba West Buganda olw’okutukkiriza tubaweereze nga Abalabirizi bammwe. Nsaba Katonda atusobozese tukolere wamu.
 
Ekifaananyi kya bonna nga muli Ssaabasajja Kabaka,
Omumyuka wa Pulezidenti, Ssaabalabirizi n'abalabirizi abalala
KATONDA BYATULAGA OKUKOLA MU BULABIRIZI BUNO
Tuwulira nga Katonda omulimu gwatuyitidde okukola gwesigamiziddwa ku bigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo ebiri mu Njiri eyawandiikibwa Yokaana Omutukuvu (Yok. 15:16)
                                                                                                   
“Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n’ebibala byammwe bibeerengawo kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.”

     ⇒               Katonda ayagala tubeere betoowaze mu Buweereza buno nga tujjukira bulijjo nti Ye y’atulonze n’okututuma, nga Kabaka Daudi - (1Sam.16:11-13).
     ⇒               Ayagala ffenna tubalire wamu ebibala, era bibeerengawo - (Bag. 5:22)
      ⇒               Atusuubiza okuddamu okusaba kwaffe (Yok. 15.16b; Lug. Hymn 6).
      ⇒               Tukkiriza nga okusaba ge mafuta aganatuyinzisa mu Buweereza buno. Tusaba Katonda anyweze n’okugaziya eggye ly’Abegayirizi mu Bulabirizi bwonna (Isa. 62:6-7).

Mukama tumwebaza nnyo olw’obuweereza n’obukulembeze obw’ekitalo obwa  Rt. Rev. Godfrey (RIP) ne Maama Deborah Makumbi. (Tusirikemu akaseera).
Katonda y’ababeera mu kiseera ekitono kye baweereza ne balekawo omukululo ogw’enkulakulana n’enteekateeka y’Obulabirizi enkukuutivu ey’emyaka ekkumi (2012-2021).

Katonda nga ye Mubeezi waffe, tujja kufuba okugiteeka mu nkola, era n’ebirala by’anatulaga. Bino wammanga bye bimu ku byetaaga okusaako essira:

  1. 1.       Okubuulira Enjiri
N’amaanyi gaffe gonna, tujja kubuulira Enjiri ey’Obulokozi wonna mu Bulabirizi mu buli mbeera yonna awatali kwe kiriranya, nga tuyita mu Kitongole kya Mission & Evangelism, era ne mu bibiina by’Ekkanisa byonna. Twegayirira Katonda atusobozese okukola kyonna ekisoboka okutuusa Ekigambo Kye mu buli kanyomero okugeza mu bavubi, abavuzi ba boda-boda, abalunzi, n’abakola mu makolero, amaduuka n’obutale.

  1. 2.       Okunnyikiza Okukkiriza mu by’Enjigiriza
Tujja kufuba okulaba nga eby’Okukkiriza binnyikizibwa mu by’Enjigiriza mu masomero n’amatendekero gaffe ag’Ekkanisa. Tukizuudde nga eby’Enjigiriza ebitaliimu nkwaso ya kutya na kumanya Mukama y’ensibuko y’ebizibu bye tutubiddemu mu nsi yaffe. Kino bwe tunakikola, kijja kutuyamba okukendeeza emize nga effugabbi, obubbi, ettemu, obutabanguko mu maka, obwenzi n’ebiringa ebyo.

  1. 3.       Okutendeka Abawule n’Ababuulizi
Mu bingi ebisoomoza Ekkanisa mu nsangi zino, kye kigambo ky’Abaweereza abatalina buyivu butukaana na mbeera ya nsi. Tujja kufuba okulaba nga Abaweereza baffe batendekebwa mu by’Eddiini wamu ne mu magezi ag’ekikugu, ng’Okubala ebitabo, ebya Tekinologiya, eby’Enjigiriza, eby’Obulamu, eby’Obulimi, n’eby’Obukulembeze. Kino kijja kwetaagisa okwekeeneenya emitendera egigobererwa okusunsulamu abagenda okusoma Obuweereza ku madaala ag’enjawulo.

  1. 4.       Okuluamya Obukulembeze mu Bulabirizi
Tukimanyi nti Obulabirizi bwaffe bulina obugagga bungi obw’abantu, ebintu n’ensimbi. Tujja kukola ekisoboka okulaba nga eby’obugagga ebyo bikozesebwa mu bweruufu.

Tusaba ab’Olukiiko lwa Sinoodi n’Olwobulabirizi bakozese amagezi ag’ekikugu okutumbula embeera z’Abaweereza n’okubayamba okuteekateeka ebiseera byabwe eby’okuwummula.

  1. 5.       Abakristaayo okwenyigira mu Buweereza
Ekkanisa erina obugagga bw’abantu abalina obukugu, ebirabo ne talanta eby’enjawulo. Tujja kubakubiriza okwenyingira mu nteekateeka z’Obusumba bwabwe zonna olw’okubukulaakulaanya.

  1. 6.       Okutumbula Embeera z’eby’Obulamu
Ku nsonga eno Obulabirizi bulina okusoomozebwa kunene okw’endwadde ennyingi zi namutta, gamba nga siliimu, ekirwadde ky’okuttonya, omusujja gw’ensiri, akafuba n’endala nfaafa! Tweyama okukolera awamu n’Abekitongole ky’Obulamu n’abalala abali mu kkowe eryo, okulwanyisa embeera n’enneyisa embi ebisibukako endwadde zino.

  1. 7.       Okulwanyisa Obwavu n’Emize Emirala
Nga tuyita mu Kitongole ky’Obulabirizi eky’Enteekateeka n’Ebyenkulakulana tujja kufuba okulaba nga embeera y’eby’enfuna esitukako, nga amaka galina emmere egamala okulya n’okutundako, nga obutabanguko mu maka n’okufutyanka abatalina bwogerero bikendeera.

  
  1. 8.       Enkolagana n’Enzikkiriza Eziri mu Luse lwa Kristo
Nga tukolaganira wamu n’Abenzikiriza era n’Ebitongole ebiri mu luse lw’Abakristaayo tujja kufuba okutuusa obuweereza obw’ebyetaago ebisookerwako mu bitundu ebyo gye bitali oba gye bitamala.

Ku nsonga eno, nesunga nnyo okukolera awamu n’Omusumba w’Essaza ly’e Masaka, John Baptist Kaggwa.
           
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, mu kusaba e Kako
OKUMALIRIZA
Mu nzikkirize nga nfundikira, nnebaze Owekitiibwa ennyo Gen. Yoweri Kaguta Museveni, President wa Uganda olw’okukkiriza okuyitibwa kwaffe n’aweesa omukolo guno ekitiibwa. Twebaza n’obuyambi bwonna Government ya wakati bw’ewa Ekkanisa mu nteekateeka zaayo ezitali zimu.

Tutuusa okwebaza kwaffe eri Empologoma, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okusiima n’abaawo nga twawulibwa n’okutuuziibwa nga Abalabirizi ba West Buganda Diocese. Beene, tukwebaza olw’omulimu omunene gw’okola okutabaganya abantu ab’enjawulo mu Bwakabakabwo.

Era twebaza Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Stanley Ntagali wamu ne Baganda bange Abalabirizi olw’omulimu omunene Katonda gwe y’abakozesa okutulonda okuba Abalabirizi ab’Omukaaga ab’Obulabirizi buno. Tubeebaza nnyo nnyini era nga tubasaba okutwongera obuwagizi bwammwe n’okutusabira ennyo olw’obuvunaanyizibwa obunene bwe twolekedde.
 
Kabaka nga abakwasa ekirabo ssemalabo
Twongera okwebaza ennyo Omulabirizi Jackson ne Maama Perusi Matovu aba Central Buganda, abakoze omulimu omunene ogw’okukuuma n’okukumakuma Abakristaayo ebbanga erisukka mu mwaka nga West Buganda terina Mulabirizi.

Twebaza nnyo Omulabirizi Dr. Stephen Samuel ne Maama Margaret Kaziimba Mugalu ab’e Mityana ab’atufumbirira n’okututeekateeka, ate era abatubuulidde Ekigambo kya Katonda olwa leero.

Twebaza nnyo Olukiiko olw’awamu oluvunaanyiziddwa okuteekateeka omukolo guno omubadde ba Ssabadiikoni, ba Canon, Abasumba, Ababuulizi, Abakristaayo n’abantu ba Katonda abalala mwenna nga mukulemberwa Dr. Charles Kahigiriza (Omukubiriza w’Obulabirizi); Rev. Canon Samuel Mwesigwa (Omuwandiisi/Omuwanika w’Obulabirizi); Dr. Livingstone Ddungu; Owek. Gaster Lule (Ntake); Ssabalabirizi eyawummula Dr. Livingstone Nkoyooyo; Rt. Rev. Samuel B. Ssekkadde (Omulabirizi ow’e Namirembe eyawummula); Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira (Omulabirizi w’e Namirembe); Rev. Can. Amos Magezi (Omuwandiisi w’Obussabalabirizi) ne Counsel Isaac Jjombwe (Diocesan Chancellor) olw’omulimu ogw’ettendo Katonda gw’abakozesezza. Bannaffe, mwebale nnyo.
 
Vice President nga akwasa Omulabirizi emmotoka eyamuweereddwa

Vice President Edward Kiwanuka Ssekandi , Minista Ssempijja
 ne Jude Mbabaali, Ssentebe wa Masaka District mu kusaba e Kako

Twebazizza nnyo obuyambi obutuweereddwa Central Government, n’Obwakabaka bwa Buganda mu kuteekateeka omukolo guno. Tusaba Katonda atusobozese tukolere wamu era abawe nnyo Omukisa.

Siyinza kwerabira okwebaza ennyo Mukyala wange Rev. Elizabeth Julia Katumba-Tamale, annyambye okunsabiranga era n’okunzizaamu amaanyi mu Buweereza bwange.
Abaana baffe, olw’okuweerezanga naffe bulijjo; Abazadde baffe, Ab’oluganda ku njuyi zombi wamu ne mikwano gyaffe mwenna olw’okuyimirira naffe mu Buweereza okutuusa ku ddaala lino ery’Obulabirizi.

Tubasaba temukoowa kutusabiranga. Naffe tubasabira Omukisa gwa Katonda abakulembere mu makubo ne mu buweereza bwammwe.



+Rt. Rev. Henry Katumba-Tamale

OMULABIRIZI WA WEST BUGANDA.


No comments:

Post a Comment