Wednesday, October 10, 2018

Weeraba Joseph Kabunga Ddumba- Munnabyamizannyo ate Omukubiriza w'aabakrisitaayo

Joseph Kabunga Ddumba omutuuze w'e Kabowa yafudde ku Lwokubiri nga 9 October nga busaasaana.

Omugenzi Joseph Kabunga Ddumba
Kabunga Ddumba abadde munnabyamizannyo eyagusambako mu Uganda Cranes ate nga y'abadde ku kakiiko k’empaka z’ebika bya Buganda. Yaliko Omukubiriza w’Abakristaayo e Kabowa wamu n’okukulembera ekibiina ky’abaami abafumbo ekya Fathers Union.

Bweyalondebwa ku kakiiko akatawulula emisango gy’emipiira gy’ebika bino byeyategeeza Bukedde 2013
“nze emipiira gy’Ebika nnali ngyagala kuba mu 1950, nnasambiranga mu ttiimu y’Ekika kyange eky’e Mbogo.
Omupiira nagutandikira mu ttiimu ya Kayunga eyatandikibwawo George Mukasa Nyanzi, nga mu ttiimu eno ne Kabaka Muteesa 11, mwe yazannyiranga. Lumu twali tuzannya ne ttimu ya Pepsi omuzannyi n’atema Muteesa n’alumizibwa ekyayisa obubi abawagizi.
Okuva olwo Muteesa teyaddamu kuzannya mupiira gwakuwakanirwa. Baasalawo tugendenga mu Lubiri gye tuba tusambira naye ng’akapiira ke twazannyanga naye kaali kaakunyumirwa.”