Tuesday, April 5, 2016

Abagagga abatalina Yesu balina ebiku by'ebizibu'- Mukyala Ssekidde (Seroma)


Mukyala Margaret Ssekidde nga ayogera eri abafumbo e Jjanyi

Mukyala  Margaret Ssekidde omugagga wa Seroma akubirizza abantu okukomya okwegomba abagagga olw'okuba bajjudde 'ebiku by'ebizibu'.

Bino Mukyala Ssekidde yabyogeredde mu Kanisa ya All Saints Jjanyi mu Busumba bw'e Kitende ku Ssande bweyabadde abuulira ku lunaku lw'abakyala abafumbo aba Mothers Union.

Yagambye  "abagagga abo bemulaba mu Kampala balina ebiku by'ebizibu. Bwebafuna ssente zijja nebiku by'ebizibu. Ne bwoba otudde mu ntebe bikuluma. Ate bw'oba ofumba bikuluma. Kale temubegomba nnyo." Yayongeddeko nti
Amaka agataliimu Katonda mazibu nnyo.Era n'asaba Abakristaayo okugenda okwenenya eri Katonda kubanga amanyi bbuli muntu bwali.


Yakubirizza abazadde okuyigiriza abaana baabwe okutya Katonda nga babakuliza mu kanisa. era yagambye nti kiba Kirungi nnyo taata ne maama okubeera nga babuulirira bulungi abaana baabwe.

Yennyamidde olw'abantu okubeera nga bakoowu mu ngeri zonna. Era n'agamba nti abantu kyebambadde kirala naye nga munda kirala. "Abantu kyebali ku maaso si kye kiri mu mitima gyabwe." Yagambye nti omuntu ayinza okulaga munne nti amawagala nnyo naye nga bwebuziba ate yekukuutiriza ku bakabanne.

Yewuunyizza engeri abantu ensangi zino gyebasazeewo okugulumiza abanywi b'enjaga nga babayita bassereebu. "Abaambala obukunya be basereebu, olwo baba kyakulabirako ki?" bweyebuuzizza. Tulina Katonda awulira era akola ebyamagero. "Bassereebu bangi mu Uganda naye tewali nomu agasa nsi. Eggwanga kkoowu. Tetulina misingi. Abantu abagasa eggwanga tubalaba nga ababi" bweyennyamidde.
Mukyala Ssekidde ne bamemba ba MU e Jjanyi

Yasabye abazadde okuyigiriza wamu n'okwogereko n'abaana baabwe ku bikwata ku kwegatta. "Bwemuba temusobola kwogwera nabo mu luganda mubategeeze mu lungereza" bweyagambye. 
"Abaana mubanyonyole era mubafumbize nga mbeerera nze tonnimba era nkukebera buli kimu kyonna" bweyagambye era n'agattako nti bbo mu maka gaabwe bakozesa abaana baabwe endagaano ne Katonda era nebafumbirwa nga tebalina bbala lyonna.

Yagambye nti ebintu ebireetera abantu okugwa mulimu sente. Yategeezezza nti waliwo omukyala w'omu ku baggagga eyamutuukirira n'amutegeeza nti yejjusa olunaku lwebaafuna ssente mu maka gaabwe nti olwokuba Sitaani yayingira amaka ago nga ayita mu ssente. Era nti omusajja n'atandika okukwana buli kiramu.
"Ssente si kyekimala byonna. Ssente zizimba enyumba naye tezizimba maka" bweyalabudde. 
Yalabudde abasajja abaganza bakabannaabwe nti Mukama Katonda agenda okubakolimira.

Yasabye abasajja abazaala abaana ebweru baleme  kubakweka ate babaleete nga bamaze okufa. "Bw'ozaala ebweru jangu wenenyeze mukyala wo" bweyagambye.

Ye Omubuulizi w'e Kanisa eno Charles James Ataliwandha yebazizza Mukyala Ssekidde n'omwami we Lt. Col Robert Ssekidde olw'okubawa ensawo za sseminti 50 ezaakozesebwa okuzimba ekanisa empya.

Mu kusaba kuno abakyala bazannyiddemu omuzannyo ogulaga omwami omufumbo atafaayo ku buvanyizibwa bwe nga abulekera mukyala we n'apatikana na buli kimu. Akazannyo ako kawandiikiddwa Andrew Benon Kibuuka (azannya nga Ddube Ssempaata Atasasula Booda) era nga naye mukulisitaayo mu kanisa eno.





No comments:

Post a Comment