“Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n’ebibala byammwe bibeerengawo kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.”
Ab’oluganda,
Mbanirizza
nnyo n’okubalamusa mwenna mu linnya ly’Omulokozi waffe Yesu Kristo ku lunaku
luno nga 28 Muwakanya, 2016 olw’Okwawulibwa n’Okutuuzibwa kwaffe ku ntebe
ey’obukulembeze bw’Obulabirizi bwa West Buganda. Mukama yebazibwe!
Omulabirizi ne Maama nga bakatuuzibwa |
Omutima gwange
gutendereza Mukama, era n’amugulumizanga n’okwebaza olw’omukisa gwe yatuwa
okuweereza mu Kkanisa ye. Mukyala wange n’abaana baffe tubebaza nnyo
olw’okukkiriza ne mujja ku mukolo guno ogw’ebyafaayo nga bwe mwayitibwa.
Ssabasajja ne
Maama Nnabagereka mutuwadde nnyo ekitiibwa!!
EBITONOTONO
EBINFAAKO
Nze Henry
Katumba-Tamale. Nazaalibwa nga 28 Mugulansigo, 1960 e Kansanga Kyaddondo.
Bazadde bange ye mugenzi Ssalongo James Ssemukwano Ssekyalo ne Nnalongo
Virginia Naggayi. Neddira Nkima era ndi Muzzukulu wa Mugema. Nabatizibwa era ne
nzissibwako emikono mu Kkanisa y’Omutukuvu Sitefano e Kisugu.
Okwogera kw'Omulabirizi Katumba |
Nasomera
Kisugu ne St. Peter’s Nsambya Primary Schools; ne Modern Sen. Sec. School.
Nakolerako mu
Kitongole kya Government ekisolooza emisolo ne mu Ministry y’Abakozi.
Mu
kutendekebwa mu Buweereza bw’Ekkanisa nasomera mu Uganda Martyrs’
Seminary-Namugongo; Bishop Tucker Theological College, Mukono gye nafunira
ddiguli mu by’Eddiini (MAK) ate ne mu ttendekero lya UNISE e Kyambogo gye
nabangulirwa mu kubudaabuda abantu abalina obulemu.
Nakkiriza Yesu
Kristo okuba Omulokozi wange mu mwezi gwa Muwakanya 1984 e Nateete, Obulabirizi
bw’e Namirembe bwe bwali buggulawo okubuulira Enjiri ku mutwe: “Nze Kkubo,
n’Amazima, n’Obulamu” (Yok. 14:6).
Omulabirizi
w’e Namirembe Misaeri Kauma (RIP) yanteekawo nga Omudiikoni nga 14 Nteenvu,
1986 ate n’Enjawulibwa ku Bukkadde bw’Ekkanisa nga 27 Museenene, 1988 mu
Kkanisa Lutikko e Namirembe.
Twafumbiriganwa
ne mukwano gwange Elizabeth Julia nga 12 Nteenvu, 1987 mu Lutikko e
Namirembe era Katonda atuwadde abaana bataano; n’abalala bangi batuwadde
okulera.
• ⇒ Mwesigwa Kisaakye Jonathan Sekiziivu
• ⇒ Mwebaza Maria Allen Ntongo
• ⇒ Ateesabulungi Emmanuel Meshach Kabugo
• ⇒ Kiwummulo Jeremiah Daniel Tamale
• ⇒ Mirembe Sarah Edith Namuli.
Mpeerezza nga
Omubuulizi, Omudiikoni, Omukadde w’Ekkanisa mu bifo ebitali bimu nga bwe biragiddwa wano:
• ⇒ St. John’s Kawuku, Ggaba
• ⇒ Obusumba bw’e Masajja Kyabaggu
• ⇒ Obusumba bw’e Kibanga mu bizinga by’e Ssese
• ⇒ Lutikko y’Omutukuvu Pawulo e Namirembe
• ⇒ Ebitongole eky’Abavubuka, eky’Enjiri n’Amakolero
• ⇒ Obusumba bw’e Bweyogerere
• ⇒ Bishop Hannington Theological Institute, Mombasa,
Kenya
• ⇒ Uganda Martyrs’ Seminary, Namugongo
• ⇒ Uganda Christian University, Mukono
• ⇒ Office y’Omulabirizi w’e Namirembe, n’Obusumba
bw’e Kamuli.
OKWEBAZA
Okusookera
ddala nebaza Katonda eyandowooza okuba omwesigwa n’ampitira Obuweereza
bw’Ekkanisa emyaka 34 egiyise. Mu kisa kye ekitagerekeka n’andokola era kaakano ansaanyiza okuweereza nga
Omulabirizi!
Nyongera
okumwebaza olw’ebirungi byonna bye yawa Obulabirizi buno ebiyambye ennyo mu
kukola omulimu gwe okuva lwe bwatondebwawo mu 1960.
Ku lwange ne
Mukyala wange wamu n’abennyumba yange bonna, nnebaza nnyo Katonda
olw’obukulembeze n’okulerebwa okwabaweereza bano: Omugenzi Rev. Godfrey Charles
Bazira eyali Omukulu wa Uganda Martyrs’ Seminary e Namugongo, eyatemulwa mu
bukambwe mu 1984; omugenzi Rt. Rev. Misaeri ne Maama Geraldine Kauma;
Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Rt. Rev. Samuel ne Maama Allen Balagadde
Ssekkadde; Rt. Rev. Julius Robert ne Maama Rose Kalu, ACK Mombasa; Rt. Rev.
Samson ne Maama Agatha Mwaluda, ACK Taita-Taveta; Rt. Rev. Wilberforce ne Maama
Faith Kityo Luwalira, Namirembe; Rt. Rev. Jackson ne Maama Perusi Matovu,
Central Buganda; Rt. Rev. Stephen ne Maama Margaret Kaziimba, Mityana
Diocese; Ba Ssabalabirizi abawummula Rt.
Rev. Dr. Livingstone ne Maama Ruth Nkoyooyo; wamu ne Rt. Rev. Henry Luke ne
Maama Phoebe Orombi abaweerezza naffe ebbanga eddene, olw’okwagala
n’obunyiikivu bwammwe ebituyambye ennyo mu buweereza n’okuyitibwa kwaffe.
Ku abo
twongerako okwebaza ba Ssabadikoni, ba Canon, Abawule, Ababuulizi, Abakristaayo
n’abantu ba Katonda ab’omu Bulabirizi bw’e Namirembe, Mukono, Kampala, Mombasa
ne Taita-Taveta – Kenya olw’obuwagizi n’omukwano bye mutulaze; Rev. Canon Dr.
John Senyonyi n’abaweereza bonna mu Uganda Christian University; Omw. John Fred
Kazibwe n’abaweereza bonna mu Mengo Senior School olw’obumu n’enkolagana ennungi
bye tubadde nabyo.
Era wano we
tusabira twebaze nnyo Omulabirizi Jackson ne Maama Perusi Matovu aba Central
Buganda Diocese ababadde bakuuma Obulabirizi, era abaayisa Obulabirizi buno mu
kiseera eky’okunoonya Omulabirizi omugya.
Twebaza nnyo
n’Abalabirizi abalala bonna abatusooka okuweereza, naffe ka tuzimbire ku
musingi Kristo gwe y’asima.
Twebaza
Abawule, Ababuulizi n’Abakristaayo bonna aba West Buganda olw’okutukkiriza
tubaweereze nga Abalabirizi bammwe. Nsaba Katonda atusobozese tukolere wamu.
Ekifaananyi kya bonna nga muli Ssaabasajja Kabaka, Omumyuka wa Pulezidenti, Ssaabalabirizi n'abalabirizi abalala |
KATONDA
BYATULAGA OKUKOLA MU BULABIRIZI BUNO
Tuwulira nga
Katonda omulimu gwatuyitidde okukola gwesigamiziddwa ku bigambo bya Mukama
waffe Yesu Kristo ebiri mu Njiri eyawandiikibwa Yokaana Omutukuvu (Yok. 15:16)
“Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe,
ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n’ebibala byammwe bibeerengawo kyonna
kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.”
• ⇒ Katonda ayagala tubeere betoowaze mu Buweereza
buno nga tujjukira bulijjo nti Ye y’atulonze n’okututuma, nga Kabaka Daudi - (1Sam.16:11-13).
• ⇒ Ayagala ffenna tubalire wamu ebibala, era
bibeerengawo - (Bag. 5:22)
•
⇒ Atusuubiza
okuddamu okusaba kwaffe (Yok.
15.16b; Lug. Hymn 6).
•
⇒ Tukkiriza nga
okusaba ge mafuta aganatuyinzisa mu Buweereza buno. Tusaba Katonda anyweze
n’okugaziya eggye ly’Abegayirizi mu Bulabirizi bwonna (Isa. 62:6-7).
Mukama
tumwebaza nnyo olw’obuweereza n’obukulembeze obw’ekitalo obwa Rt. Rev. Godfrey (RIP) ne Maama Deborah
Makumbi. (Tusirikemu akaseera).
Katonda
y’ababeera mu kiseera ekitono kye baweereza ne balekawo omukululo
ogw’enkulakulana n’enteekateeka y’Obulabirizi enkukuutivu ey’emyaka ekkumi
(2012-2021).
Katonda nga ye
Mubeezi waffe, tujja kufuba okugiteeka mu nkola, era n’ebirala by’anatulaga.
Bino wammanga bye bimu ku byetaaga okusaako essira:
- 1. Okubuulira Enjiri
N’amaanyi gaffe gonna, tujja kubuulira Enjiri
ey’Obulokozi wonna mu Bulabirizi mu buli mbeera yonna awatali kwe kiriranya,
nga tuyita mu Kitongole kya Mission & Evangelism, era ne mu bibiina
by’Ekkanisa byonna. Twegayirira Katonda atusobozese okukola kyonna ekisoboka
okutuusa Ekigambo Kye mu buli kanyomero okugeza mu bavubi, abavuzi ba
boda-boda, abalunzi, n’abakola mu makolero, amaduuka n’obutale.
- 2. Okunnyikiza
Okukkiriza mu by’Enjigiriza
Tujja kufuba okulaba nga eby’Okukkiriza
binnyikizibwa mu by’Enjigiriza mu masomero n’amatendekero gaffe ag’Ekkanisa.
Tukizuudde nga eby’Enjigiriza ebitaliimu nkwaso ya kutya na kumanya Mukama
y’ensibuko y’ebizibu bye tutubiddemu mu nsi yaffe. Kino bwe tunakikola, kijja
kutuyamba okukendeeza emize nga effugabbi, obubbi, ettemu, obutabanguko mu
maka, obwenzi n’ebiringa ebyo.
- 3. Okutendeka Abawule
n’Ababuulizi
Mu bingi ebisoomoza Ekkanisa mu nsangi zino, kye kigambo
ky’Abaweereza abatalina buyivu butukaana na mbeera ya nsi. Tujja kufuba okulaba
nga Abaweereza baffe batendekebwa mu by’Eddiini wamu ne mu magezi ag’ekikugu,
ng’Okubala ebitabo, ebya Tekinologiya, eby’Enjigiriza, eby’Obulamu,
eby’Obulimi, n’eby’Obukulembeze. Kino kijja kwetaagisa okwekeeneenya emitendera
egigobererwa okusunsulamu abagenda okusoma Obuweereza ku madaala ag’enjawulo.
- 4. Okuluamya
Obukulembeze mu Bulabirizi
Tukimanyi nti Obulabirizi bwaffe bulina obugagga
bungi obw’abantu, ebintu n’ensimbi. Tujja kukola ekisoboka okulaba nga
eby’obugagga ebyo bikozesebwa mu bweruufu.
Tusaba ab’Olukiiko lwa Sinoodi n’Olwobulabirizi
bakozese amagezi ag’ekikugu okutumbula embeera z’Abaweereza n’okubayamba
okuteekateeka ebiseera byabwe eby’okuwummula.
- 5. Abakristaayo
okwenyigira mu Buweereza
Ekkanisa erina obugagga bw’abantu abalina
obukugu, ebirabo ne talanta eby’enjawulo. Tujja kubakubiriza okwenyingira mu
nteekateeka z’Obusumba bwabwe zonna olw’okubukulaakulaanya.
- 6. Okutumbula Embeera
z’eby’Obulamu
Ku nsonga eno Obulabirizi bulina okusoomozebwa
kunene okw’endwadde ennyingi zi namutta, gamba nga siliimu, ekirwadde
ky’okuttonya, omusujja gw’ensiri, akafuba n’endala nfaafa! Tweyama okukolera
awamu n’Abekitongole ky’Obulamu n’abalala abali mu kkowe eryo, okulwanyisa
embeera n’enneyisa embi ebisibukako endwadde zino.
- 7. Okulwanyisa Obwavu
n’Emize Emirala
Nga tuyita mu Kitongole ky’Obulabirizi
eky’Enteekateeka n’Ebyenkulakulana tujja kufuba okulaba nga embeera y’eby’enfuna
esitukako, nga amaka galina emmere egamala okulya n’okutundako, nga
obutabanguko mu maka n’okufutyanka abatalina bwogerero bikendeera.
- 8. Enkolagana
n’Enzikkiriza Eziri mu Luse lwa Kristo
Nga tukolaganira wamu n’Abenzikiriza era
n’Ebitongole ebiri mu luse lw’Abakristaayo tujja kufuba okutuusa obuweereza
obw’ebyetaago ebisookerwako mu bitundu ebyo gye bitali oba gye bitamala.
Ku nsonga eno, nesunga nnyo okukolera awamu
n’Omusumba w’Essaza ly’e Masaka, John Baptist Kaggwa.
OKUMALIRIZA
Mu nzikkirize
nga nfundikira, nnebaze Owekitiibwa ennyo Gen. Yoweri Kaguta Museveni,
President wa Uganda olw’okukkiriza okuyitibwa kwaffe n’aweesa omukolo guno
ekitiibwa. Twebaza n’obuyambi bwonna Government ya wakati bw’ewa Ekkanisa mu
nteekateeka zaayo ezitali zimu.
Tutuusa
okwebaza kwaffe eri Empologoma, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II,
olw’okusiima n’abaawo nga twawulibwa n’okutuuziibwa nga Abalabirizi ba West
Buganda Diocese. Beene, tukwebaza olw’omulimu omunene gw’okola okutabaganya
abantu ab’enjawulo mu Bwakabakabwo.
Era twebaza
Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Stanley Ntagali wamu ne
Baganda bange Abalabirizi olw’omulimu omunene Katonda gwe y’abakozesa
okutulonda okuba Abalabirizi ab’Omukaaga ab’Obulabirizi buno. Tubeebaza nnyo nnyini
era nga tubasaba okutwongera obuwagizi bwammwe n’okutusabira ennyo
olw’obuvunaanyizibwa obunene bwe twolekedde.
Twongera
okwebaza ennyo Omulabirizi Jackson ne Maama Perusi Matovu aba Central Buganda,
abakoze omulimu omunene ogw’okukuuma n’okukumakuma Abakristaayo ebbanga
erisukka mu mwaka nga West Buganda terina Mulabirizi.
Twebaza nnyo
Omulabirizi Dr. Stephen Samuel ne Maama Margaret Kaziimba Mugalu ab’e Mityana
ab’atufumbirira n’okututeekateeka, ate era abatubuulidde Ekigambo kya Katonda
olwa leero.
Twebaza nnyo
Olukiiko olw’awamu oluvunaanyiziddwa okuteekateeka omukolo guno omubadde ba
Ssabadiikoni, ba Canon, Abasumba, Ababuulizi, Abakristaayo n’abantu ba Katonda
abalala mwenna nga mukulemberwa Dr. Charles Kahigiriza (Omukubiriza
w’Obulabirizi); Rev. Canon Samuel Mwesigwa (Omuwandiisi/Omuwanika
w’Obulabirizi); Dr. Livingstone Ddungu; Owek. Gaster Lule (Ntake);
Ssabalabirizi eyawummula Dr. Livingstone Nkoyooyo; Rt. Rev. Samuel B. Ssekkadde
(Omulabirizi ow’e Namirembe eyawummula); Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira
(Omulabirizi w’e Namirembe); Rev. Can. Amos Magezi (Omuwandiisi
w’Obussabalabirizi) ne Counsel Isaac Jjombwe (Diocesan Chancellor) olw’omulimu
ogw’ettendo Katonda gw’abakozesezza. Bannaffe, mwebale nnyo.
Vice President Edward Kiwanuka Ssekandi , Minista Ssempijja ne Jude Mbabaali, Ssentebe wa Masaka District mu kusaba e Kako |
Twebazizza
nnyo obuyambi obutuweereddwa Central Government, n’Obwakabaka bwa Buganda mu
kuteekateeka omukolo guno. Tusaba Katonda atusobozese tukolere wamu era abawe
nnyo Omukisa.
Siyinza
kwerabira okwebaza ennyo Mukyala wange Rev. Elizabeth Julia Katumba-Tamale,
annyambye okunsabiranga era n’okunzizaamu amaanyi mu Buweereza bwange.
Abaana baffe,
olw’okuweerezanga naffe bulijjo; Abazadde baffe, Ab’oluganda ku njuyi zombi
wamu ne mikwano gyaffe mwenna olw’okuyimirira naffe mu Buweereza okutuusa ku
ddaala lino ery’Obulabirizi.
Tubasaba
temukoowa kutusabiranga. Naffe tubasabira Omukisa gwa Katonda abakulembere mu
makubo ne mu buweereza bwammwe.
+Rt. Rev. Henry
Katumba-Tamale
No comments:
Post a Comment