Ven. Can. Nsereko, Ssaabadiikoni w'e Masaka nga abuulira e Kikungwe |
1. Yesu yagamba mugende mubuulire
2. mubatize
3. muyigirize.
Yategeezezza nti Ekkanisa ya Uganda ekoze bulungi nnyo ku nsonga ebbiri ezisooka naye eky’okusatu eky’okuyigiriza ki kyalemye.
“Okubuulira tubuulidde era abantu balokose era tubatiza buli Ssande. Naye ekyokuyigiriza ekyo kikyagaanye. Nze sikyabuulira Kati njigiriza buyigiriza.” bweyategeezezza. Nayongerako “Njagala nnyo okuyigiriza kubanga buli kyetuyigiriza Mukama abeera naffe” bweyakkaatirizza. Nagamba nti Katonda takyuka kubanga ezo zembeera ze.
Yasabye abakristaayo bulijjo okufaayo okulaga bannaabwe ekisa nga Mukama waffe bwali ow’ekisa. “Buli lw’otuuka mu kkanisa nga omaze okusaba buuza ku munno.” bweyagambye
Kikungwe Church of Uganda in West Buganda Diocese |
ENKOZESA YA SMART PHONES
Yagambye nti ensangi zino waliwo abantu abalina smart phones naye nga tebalinaako Bible App ate nga eyamba buli wobeera n’obeera nga osoma ekigambo kya Katonda. “Muzikozese nga muteekako Bible App olwo Mukama anabongera emikisa” Ssaabadiikoni Nsereko bweyawadde amagezi.
Era yasabye abakristaayo okufaayo ennyo okulaba nga babeera n’ebitabo by’okusaba. Yategeezezza nti tebiyamba mu Kanisa wokka naye era ne mu maka eyo abakristaayo gyebabera kubanga birimu essaala ez’okusaba buli lunaku.
Part of the Congregation at Kikungwe |
“Nze oluyimba lwa Tuzuukuke tuzuukuke naluyigira waka ate Enkya bw’onozuukukanga naluyigira mu nursery. Muyigirize abaana ennnyimba zaffe.” n’agattako nti kati amasomero nebwegabeera gali ku musingi gw’e kanisa olumala okuyimba “we young men and women of Uganda” bakkunnumba bayingira mu bibiina. Era yagambye nti tekyewuunyisa okuwulira abaana nga basinga kuyimba nnyimba za bidandaali ezitalina makulu mu kifo eky’okukwata ezo ez’ekkanisa.
OKUJJUKIRA EMIRIMU EMIRUNGI ABAGENZI GYEBAAKOLA
Ssaabadiikoni Nsereko yannyonnyodde bonna abaabaddewo nti Ekanisa ya Uganda tesabira bafu wabula okwebaza Katonda olw’emirimu emirungi gyayakozesa abagenzi abo. “Ekkanisa ya Uganda ejjukira abantu baayo abaagivaako. Tetusabira bafu kubanga nebwosabira omuntu afudde abeera tajja kukyusa” bweyagambye nagattako nti “Omuntu bwafa nga abadde Musezi era bamuziika n’obusezi bwe. Essaala eyo nti omwoyo ggwe agulamuze kisa tekola.” bweyakawangamudde.
Ven. Nsereko Ssaabadiikoni wa Masaka, omusumba w'e Kikungwe Rev. AbayinaYesu asooka ku kkono ne Choir oluvannyuma lw'okusiinza |
Ku bantu abakola ebyawongo mu kuziika, yennyamidde nasaba omuz ogwo okukomezebwa. Yagambye nti Waliwo gy’otuuka nga muziika mukulisitaayo olwo nemulaba abakola ebyawongo ku ntaana nga badda kyenyumanyuma.
“Bwemuba mwagala okukola ggoggolimbo oyo mubikole nga tetuliiwo. Bwemunaakolanga ebyo omufu nja kumubalekera.” bwe yalabudde.
Yasabye ab’ekanisa y’e Kikungwe okutandikawo Projects ennene ez’amaanyi akabbo kasobole okukendeera mu kanisa. Yategeezezza nti olumala okuzimba ennyumba y’omusumba, ekiseera kituuse balowooze ku kuzimba ekkanisa ennene eneweesa Kikungwe ekitiibwa.
Abamu ku beetabye mu kusiinza |
Hannington Sebuliba nga ayogera kulwa Ssebuliba family |
Yeebazizza aba famile ezaasobodde okubaawo okujjukira gyebaava. “Abantu abali mu makanisa aganyirira e Kampala bava eno mu mmwe. Netusigala nga tuli mu kano akalinga amasonko.Ekiseera kituuse West Buganda esobole okuba nga edda ku ntikko. Eri gyemuzimba makanisa agebbeyi mubasiibuza ka jjambo akebigere.” bwe yagambye.
Oluvannyuma buli family yeeyamye okubaako kyekola okulaba nti bamaliriza ennyumba y’Omusumba, Omulabirizi asobole okujja okuteekako emikono mu October nga 30 nga buli kimu kiri mulaala.
Ye Omusumba w’e Kikungwe Rev. AbayinaYesu yategeezezza nti enkola eno egenda kubaawo buli Ssande esooka mu mwezi gwa August nga famile zonna zijja okwebaza Katonda n’okujjukira emirimu emirungi egy’abakristaayo n’abaweereza abaatuva ku maaso era tukolereko ensonga ezinatwala Kikungwe mu maaso.
Famire zonna ez’abaddewo zawandiise amannya gaazo n’endagiriro mu kitabo ekinayamba okubatuukako okulaba nga Kikungwe okulira ku musingi omugumu. Era families ezo zasabiddwa okuweereza ebifaananyi (Portraits)eby’abagenzi ebinateekebwa mu kisenge mwebannajjukirirwanga.
Ennyumba y'omusumba ezimbibwa e Kikungwe |
Ennyumba enkadde abasumba mwe baasulanga. |
No comments:
Post a Comment