Omulabirizi Luwalira yampita omwaka
guli 2015 tegunnaba kuggwako, Omuntu bwakuwa, nakulaalika bwatyo, oba mubi nnyo
bw’otabeerawo ku bintu bye. Ssebo naawe nkwebaza Bishop Ssekkadde kubanga
emirimu gyewakola abaana bagitubuulidde n’abalala bonna naye ate n’ogwaleero
olw’ebigambo by’otugambye n’oleeta n’entiisa mu bakulisitaayo bano bwe batidde okukwata ku nsiriba. Tukwebaza
nnyo ssebo. Ate era twebaza n’omukulu alabirira ekifo kino ow’envuma, singa era
omulimu gwewamukwasa tagulabiridde bulungi, osanga ekibiiba kino
tekyandikungaanye wano.
Katikkiro Mayiga ku kitebe ky'Obusaabadiikoni e Mengo |
Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ayogera eri abakristaayo |
Njagala okwebaza Katonda eyatusobozesa
okuddamu okufuna Obwakabaka mu Buganda. Mu byafaayo mulimu ensi nnyingi
ezibadde n’Obwakabaka nebuvaawo ate nebutaddawo. Mu Bulaaya mulimu ensi nga
Bugirimaani, Bufaransa, Russia n’endala nkumu. Ne mu Africa tuzirabye ensi
nnyingi omubadde obwakabaka ne butadda. Ne mu baliraanwa wano e Congo Zaire
baaliwo ne Zimbabwe n’awalala wangi. Tulina
okwebaza Katonda kuba ffe wano mu Buganda twakafuna omukisa emirundi ebiri
Obwakabaka nga buvaawo ate ne buddawo.
Kabaka
Chwa Nabakka bwe yabula tewaaliwo atuula ku Namulondo, kubanga omwana we gwe yazaala
Kalemeera yali yawaŋŋangukira eyo Bunyoro, yali yeekola
obusolosolo ne bamusindika eyo. Kaakati bwe
yabula nga tewali atuula ku Namulondo,
negiyita emyaka egiteeberezebwa okubeera mu makumi abiri. Bano ab’efumbe ng’ono
ow’e Najjanankumbi azze nambuzaako, Jjajjabwe n’akuuma Obuganda natuuka n’okwagala
okufuuka Kabaka, naye omukazi Nnakku n’amugamba nti olimbye, e Bunyoro Omulangira Kalemeera yazaalirayo
omulangira. Bwatyo omulangira Kimera n’ava
e Bunyoro, nazzaawo engoma ya Buganda nga emyaka gisobye mu abiri.
Katikkiro Mayiga ne Mukyala we e Mengo |
Mu biseera byaffe bino, era ekyavaako n’okutuuma
Obusaabadiikoni erinnya erya Mengo, naffe mu biseera byaffe twalaba Obwakabaka
bwali buvuddewo mu 1966 nebuddwawo mu 1993. Okuddawo kw’obwakabaka mu mulembe
gwa Kimera tuyinza okugamba nti Nakku ye yabagulizaako Obuganda. Tuyinza okugamba
nti ye yabutaasa. Ate ku mulembe guno, kyangu nnyo okugamba nti okukyusa amateeka
kye kyazzaawo Obwakabaka, Ssemateeka n’amateeka amalala agakugira Obwakabaka.
Ekyo kyekyangu eky’okwogera. Naye ku mirundi gyombi ensonga esinga okuba
obukulu be bantu ba Buganda bonna okutwalira awamu mu mbeera buli bamu
gyebabaddemu, okussa ekimu ng’enkuyege nti twagala Kabaka waffe. Era ekanisa yonna
okutwalira awamu, yakola kinene nnyo weetegereze okutuuma Obusaabadiikoni buno
nti bw’e Mengo okutangira erinnya eryo okusaanawo. Abaakola ekyo, bassa ettofaali
eddene ennyo mu nsonga z’okuzaawo Obuganda. Kubanga oba oli awo, singa ebya
Buganda byali byerabiddwa, okuva mu 1966 osanga wetwandituukidde mu 1993 nga
tekyali abiriko ayinza na kugamba nti n’amateeka tugakyuse.
N’abalwana mu nsiko naddala wano mu Buganda, abasinga
baajulizanga Bwakabaka abeegattira ku President Museveni, ekyo bwekiri. Kubanga
Obuganda tebwazikirira, waliwo abaasigala nga basesaamu. Ne Namirembe eyo,
Namulondo baagitereka bulungi. Ne Katikkiro Mayanja Nkangi, Ddamula yamukuuma
bulungi, yamukuumira eyo Buddu n’ekifo engeri gye yamukuumamu yakimbuulira naye
mmwe sijja kukibabuulira kubanga tomanya!.
N’olwekyo neebaza nnyo abantu abalina
Omwoyo gwa Buganda ogutafa, ng’olukiiko lw’e Namirembe engeri gyelwayolesaamu
Omwoyo gwa Buganda ogutafa nga batuuma Obuasaabadiikoni buno nti Mengo.
Obusaabadiikoni obusinga ndowooza batuuma linnya lya Kitundu ekyo. Mpulira obw’Entebbe,
ndowooza Nateete oba nabwo Busaabadiikoni? Naye olaba ng’era ge mannya g’ebitundu
ebyo. Awo nno kuno kwali kwoleesebwa, tulina okubeebaza.
Twebaza n’abalala abaakungubaga mu biseera
ebyo waaliwo abaakuza ebirevu namulabako eyakuza ebirevu okutuusa ng’obwakabaka
buzzeewo nga tabisalangako. Abaakuuma omulangira Mutebi gyeyali mu kiwuubaalo
eyo mu buwanganguse e Bungereza oyinza okussa omuwendo ku ttoffaali lyabwe?
Ssaabadiikoni Gitta nga alaga Katikkiro ekanisa wegenda okuzimbibwa |
Abawaandiika ku nnono n’obuwangwa
bwaffe. Mubutuufu nze okutegeera ebya Buganda, nawuliranga kitange nga ayogera
nnyo yekokkola ejjoogo ly’Obote. Naye nga mbisoma nnyo ne mu katabo ka Musizi
ne Munno kitange byeyagulanga buli lunaku nga ndi muto. N’ebifaananyi
byenasooka okulaba, nabiraba mu butabo obwo. Abantu ab’engeri ng’eyo tulina
okubeebaza.
omusingi gw'e kanisa empya |
Katikkiro nga alambula omusingi gw'e Kanisa |
Abaakuuma ebika nga Kabaka taliiwo.
Owulidde wano Mayor ono Mulyannyama ng’agamba nti Bishop Kojja we. Ogwo gwali
mumuli ogwasigala gwaka. Nandiwadde akabonero akakulu nga tekaliiwo, naye ng’omuliro
mweguli mu vvu. Abaasaba olutattade,
nkakasa abakulu bano abaali abakulu ekimala, nga Bishop Ssekkadde ne bakanoni
bano abakulu bateekwa okuba baali basaba nga basabira Kabaka nga basabira
Obuganda. Ndowooza nti bonna abo awamu y’ensonga lwaki tuzze wano awamu nga Katikkiro
Kamalabyonna eyalondebwa Kabaka eyazzibwawo kati alamula Obuganda. N’olwekyo
fenna awamu tulina ebbanja ddene okusasula abo abaakola ebyazzaawo Obwakabaka
era abo abaalemera kw’ebyo byetukkiriza era byetumanyi nti bituufu ebitufuula
kyatuli.
Buganda eno gyetulafuubanira,
tegendereddwamu kugiggyamu bitiibwa oba byakulya, wabula ly’eggwanga eririna
ebyafaayo n’obusika bytutayinza kukkiriza kusaanawo kubanga olwo naffe tubeera
tusanyeewo. N’olwekyo ebbanja lyetulina kw’abo bonna abaakola kekabe kantu
katono katya, kekaakuuma omuliro wansi w’evvu ngamanda gaaka. Bwe Bwakabaka
bwetulina leero.
Njagala kumaliriza nga n’eebaza
enteekateeka ez’omuggundu ezikoleddwa
okukuza ekifo kino. Ssebo weebale. Bino by’okola wano si bibyo , naye ggwe
nampala waabyo. Era ttiimu bwewangula simanya ggwe wajulizza Arsenal oba
yabadde ani? Arsenal ekoma ku lugwanyu, ekoma ku munaabo. Singa Ssingo teyakuba
Bbudu, nandigeraageranyizza ku Ssingo. Era Ttiimu bwewangula kaputeeni
bamwebaza. Era bwetawangula kaputeni tebamwebaza bamugamba nti toli mukulembeze
mulungi. Ssebo tukwebaza nnyo olw’enteekateeka zino ez’omuggundu. Kirungi nnyo
okuwulira nti abakoze omulimu guno ogutayisikamu maaso, bw’otunuulira ennyumba
eyo eya Ssaabadiikoni, n’otunuulira ekitandikiddwa ku kanisa, abakikoze be
bakristo. Mpuliddeyo agamba abakulisitaayo. Omanyi ababishop bano baatugamba
nti fenna abaabatizibwa tuli bakristo. Ab’ekibuye temukimanya nga. Baatugaana
okweyita abakirisitu oba abakulisitaayo, fenna tweyite abakristo. Naye mmwe eno
temukimanyi. Naye nga bwendi mukulu wammwe, ngenda kukibasomesa. Saagala oli
ategeere nti ndi w’e Lubaga kubanga neyise omukiristu, njagala antegeerere ku
birala.
Kale mmwe abakristo abaawano mmwe mwekozeemu
omulimu. Ekyo kizzaamu amaanyi era singa mukitegedde mwandikubye nnyo mu
ngalo. Mmwe mwekwatiddemu, tulina
okukomya okwenyooma n’okulowooza nti abanaatukozesa ebinene balina kuva
bunaayira. Ogwo omuze tulina okugwejjamu ddala kuba gutunaafuya bunaafuya. Keweerimidde,
kakira mbegeraako. Era Buganda ey’omulembe Omutebi, mu makeleeziya, mu makanisa
mu mizikiti, mu masomero erina okwerandiza yokka ng’ebisookerwako ffe
tubyekolamu omulimu. Kale bwewabaawo abatuyamba, batusange nga tumaze
okwerandiza.
Natunula ku kifaananyi kino, nga
bampandiikidde, bampeereza enteekateeka. Amasiinzizo nga gano, amakanisa nga
gano modolo zino ntera kuziraba Bulaaya. Bwekiri! Era simanyi mu Uganda, mpozzi
ey’e Namirembe, simanyi oba waliwo ekanisa endala eri ku mutendera guno mu
Uganda wano, kuba ekanisa zonna mu Uganda kumpi nzimanyi. Kino kya kitiibwa,
Omukulembeze asaanidde okukwata omumuli
n’amulisiza baakulembera, n’abalaga ekkubo, n’aboolesa ebibali ewala.
Omukulembeze y’asaanidde okumanya ffe byetutamanyi batwala, n’omugaso gwabyo.
Bwentyo neebaza nnyo Ven. John Gitta olw’okulengera ewala, n’enteekateeka ey’omuggundu.
Kino nkyogeredde emirundi mingi,
ndowooza abatera okumpulira munaatera okukikoowa. Naye nja kukiddamu. Twajjirwa
omuze ogw’okukola n’emalidde n’okwagala amangu ebikujuko. Abantu bakubakubawo
mangu akakakina katonotono nga bagamba nti tuyite Omulabirizi. Biri mu
Keleziya, biri mu Kanisa biri mu Mizikiti biri buli wantu wonna ne mu nnyumba
abantu zebasulamu. Mmwe abasinga mbalaba mwakulira mu byalo mu gayumba aganene
gali ag’obudongo. Kaabe Peter Ssegawa oyo ayinza okuba katu asula mu galikwoleka. Agayumba ag’obudongo ago
genjogerako bagamanyi. Gaba nga mayumba ga Ttaka nga abaana basuula eri n’abakulu
nebasula eri. Mwe mwagala kuzimba busitoowa mukole party mutuyite tujje tulye
ebintu. Tosobola kuzimba nnyumba nnene
mu nnaku bbiri okuggyako ng’oli mubbi.
Bwekiri. Tulina okuzzaawo omutima
ogwo oguzimba ekanisa efaanana ng’eno.
Ssi kukola n’emaridde nti Omulabirizi
ajje. Abalabirizi baggwayo?! Ono bwe yawummula talina yamusikira? Kyetwetaaga,
oba tuzimba masiinzizo, oba tukola byankulaakulana ebirala byonna, tulina
okukola ebintu nga by’amaanyi. Ntera okujerega ffe baalooya naye ssi mulimu
gwaffe balooya okuzimba amakooti. Ekkooti enkulu mugiraba? Baagizimba emyaka 80
emabega. Ggwe teebereza 1936 nebazimba eyo gyemulaba awo mu maaso g’ekibangirizi
kya Ssemateeka. Olowooza abantu ba
Uganda teyabakuba nnyo? Olaba na kati ekyali kizimbe ky’amaanyi.
Kati ennaku zino twazimba ekkooti
ewozesebwamu emisango gy’obusuubuzi (Commercial Court) yenkana nga ennyumba ya
Gaster Lule oba n’ennyumba ya Gaster Lule egisinga obunene? Nebayita abantu
bonna abakulu okujja okuggulawo akazimbe bwekati?! Nze bampita saagenda. Guno
gwemwoyo gwetwagala nebwetuba tukola ebyaffe, tukola ebya Katonda, tukola ebya
gavumenti.
Kanneebaze omwana ono Nabatanzi, ne
jjajjawe. Oba alaze wa Omwana ono? Omwana Nabatanzi tabeewuunyisizza? Era neebaza Mw. Peter Ssegawa agenda
okumuweerera ettaamu bbiri. Ezo ebbiri bwezinaggwako nga omuleeta e Mengo nga
mussa ku nsawo ya Kabaka ey’ebyenjigiriza. Omwana ono simwewunyizza? Nabadde
ndowooza nti ebigambo bijja kumubula nga wayise eddaakiika bbiri. N’amanya n’omubala
gw’olugave nti bw’ompa akawala ako ng’ebanja
liwedde?!
Katikkiro Mayiga nga aleze Omwana Nabatanzi (myaka 6) eyatontomye ku buwangwa n'ennono nafuna Bbaasale okuva mu Kabaka's Education Fund |
Njagala n’okwebaza abayimbi ndowooza
babadde b’e Luwafu Church Choir. Bebaatutaandiikirizza nga batuwa ebyafaayo bya
wano ate n’aba Joy Nursery and Primary School nabo batukoze bulungi n’abalala.
Kaakati mwawulidde omulabirizi wano nga atuyigiriza bwe yatugambye. Yagambye
nti okuva edda n’edda nebaddira mu bigere bakatikkiro be bazimba amasiinzizo.
Temwamuwulidde? Kaakati nammwe abawadde ettafaali, muwadde lwakubeera nze. Nze
nzimbye. Era mukube nnyo mu ngalo nga munneebaza. Naye era nandiba omutuufu?
Temwamuwulidde ono owa Kajjansi Progressive bulijjo ayagala okunkwatako mu
ngalo. Cceeke yazireese lubaluba nga wendi. Waliwo n’omulala agambye nti
nabadde wakuwa mitwalo abiri naye Katikkiro lwaliwo, nja kuwa emitwalo ataano.
Mwebale nnyo bannange abawadde
ettoffaali ery’okuzimba ennyumba ya Mukama. Kuba byonna byetukola, tubikola ku
lwa bulungi bwa Katonda. Kaakati nayise ne ttiimu yange eyo nga bwemugiraba,
mubadde mubanyonyogera. Ebyabwe babigamba nze. Nze mukulu waabwe. Kale ttiimu
eyo ejja kuvaamu Obukadde 10. Kaakati awo bwe banaazigattako, Canon zagambye
obukadde 26, awo mulaba ssente zetugenzeemu nga ziwerera ddala. Kaakati ate nti olw’okuba nyimiridde wano ku
kituuti Omulabirizi wabadde, ng’ate nze Katikkiro azimba amasiinzizo,
tuzikubisizzaamu emirundi ebiri neziwera obukadde abiri.
Njagala okwebaza ekirabo ekimpeereddwa,
eky’essaati, eri oba ebadde gomesi oba kiteeteeyi? Mukyala wange nno
ebiteeteeyi bimunyumira. Bwekinaaba kiteeteeyi era tekiimukole bubi. Tusiimye
nnyo tusiimye bwongerwa. N’ekirabo ekimpeereddwa, tusiimye nnyo. Era nziramu
okubeebaza mwenna abazze okutendera Katonda, n’okuzimba ennyumba ya Mukama ate
na byonna byemukola nga muwagira emirimu
gya Ssaabasajja Kabaka. Bangi ku mmwe abali wano mbayiseemu. Abaana bayimbye
ennyimba nga banneebaza. Nange okufaananako Ven. Gitta, nange ndi Nampala kye
kyokka. Naye emirimu gye nkola gyaffe fenna. Mwebale nnyo temujjanga okwo
Katonda abakuume. Ssaabasajja Kabaka awangaale!
No comments:
Post a Comment