6TH SEPTEMBER 2015 BISHOP’S VISIT GENERAL PROGRAM
TIME ACTIVITY
9:00AM BISHOP ARRIVES AT AKRIGHT STAGE FOR BREAKFAST AT MR & MRS OKOTH-AKRIGHT VILLAGE
9:30 AM BISHOP ARRIVES AT ALL SAINTS JJANYI CHURCH OF UGANDA
9:35AM BISHOP EXAMINES THE CONFIRMANTS
9:50AM BISHOP MEETS & PRAYS FOR SUNDAY SCHOOL CHILDREN
10:10AM SERVICE BEGINS
12:00AM FUNDARISING FOR THE NEW CHURCH BUILDING
1:00PM I)RECESSION HYMN
II) PHOTOS WITH BISHOP BASED ON CHURCHES IN THE PARISH (13 GROUP PHOTOS)
1:30PM LUNCH AT OMULANGIRA N’OMUZAANA SSIMBWA E JJANYI
3:00PM DEPARTURE OF THE BISHOP
END OF THE DAY
PROCESSION HYMN 146 106
1. Katumusiinze, Katonda waffe
Tumuyimbire, eby’okwagala kwe
Akuuma, ayamba, mukulu wad da
Ekitiibwa kyonna kimwetoolola
2. Obuyinza bwe, n’eby’ekisa kye
Tubibuulire mu nsangi zonna
Eggulu, n’eraddu, n’omuyaga era
Byonna be baddu be abaweereza
3. Wansi w’eggulu, Kabaka waffe
Wateekebwa dda enkuluze yo
Y’ensi gyewasimba n’ogyetooloza
Ennyanja zonna nga ensalo zaayo
4. Ani ayinza okunnyonyola
Eby’omugabi waffe byagaba
Ensozi, n’ensenyi, nkuba n’olume
Empewo, n’omusana, bimusuuta
5. Ffe abaana abato, banafu ddala
Tukwesiga ggwe, atatulimba
Eby’ekisa kyo, bye by’okwewunyisa
Ggwe atonda, ggwe akuuma, ggwe akwana Yesu
6. Ayi ow’amaanyi, ow’okwagala
Bamalayika, bakutenda nnyo
Emigigi egy’abanunule bo
Basiinza, basuuta, baleeta ettendo
HOLY COMMUNION PART 1
BY OMUSUMBA
OKWANIRIZA BY SSAABADIIKONI
OKUBUULIRA BY RT.REV. SAMUEL BALAGADDE SSEKKADDE
203 144
1. Endagaano entukuvu
Gyenjagalira ddala
Byonna byeneetaaga nze
Birabikira mu yo
2. Omwoyo Omutukuvu
Yagiwandiisa edda
Teyagunjibwa bantu
Kyenaavanga ngyesiga
3. Bwenkyama enkomyawo
Bwemba ngwa enyimusa
Bwesiraba mu kkubo
Eba byendi omusana
4. Mu nnaku ensanyusa
Yesu ng’anjigiriza
Era ewoomesa gyendi
Obulamu,n’okufa.
OKWANJULA AB’OKUSAAKO EMIKONO BY:
SABADIIKONI, OMUSUMBA, ABABUULIZI
EBIRABO HYMNS: 292 181
1. Katonda tukutenda ggwe
Tukkiriza obukama bwo
Aleruuya! Aleruuya!
Ayi Kitaffe atagwawo
Ensi zonna zikusiinza
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
2. Abakukowoola ennyo
Be bamalayika bonna
Aleruuya! Aleruuya!
Bakerubi, Baserafi
N’obuyinza obw’omuggulu
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
3. Mutukuvu, mutukuvu,
Mutukuvu Omugabie
Aleruuya! Aleruuya!
Mukama ow’eggye lyonna
Kitiibwa kyo kyala wonna
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
4. Ekibiina eky’abatume
Ekyayatiikirira ennyo
Aleruuya! Aleruuya!
Ab’ekibiina ekirungi
Ekya bannabi ab’edda
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
5. Abattibwa ku lwa Yesu
Nabo bayimba ettendo lye
Aleruuya! Aleruuya!
Ekanisa entukuvu
Mu nsi yonna ekwatula
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
6. Kitaffe ggwe mukulu ennyo
Omwana wo ow’ekitiibwa
Aleruuya! Aleruuya!
N’Omwoyo Omutukuvu
Obusatu obw’ekitiibwa
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
227 189
1. Bulijjo tutendereza
Ekibuga kyaffe
Ekyasimbibwa mu ggulu
Yesu kye yazimba
Chrs
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayiika
Nandibuuse, nandituuse
Eri mu Ssayuuni
2. Era ennyumba zaakyo zonna
Ziringa nga zaabu
Ze zisinga zonna ddala
Ezizimbwa abantu
3. Yesu mwali ye Mukama
Abafuga bonna
Bamalayika beeyanza
Nga bamuweereza
4. Mu ntebe ye mufuluma
Amazzi ag’obulamu
Agamasamasa ddala
Nga ffeza ennungi
5. Era gyali gyegumera
Omuti ogw’obulamu
Amalagala kwegali
Agawonya abantu
6. Ffe tusiime ekibuga
Yesu Kristo waffe
Kyeyatulongosereza
Ekiri mu ggulu
OKWEEBAZA HYMNS: 353 302
Hymn 443 Ancient Modern and Revised
1. Lord, I would own Thy tender care
And all Thy love to me;
The food I eat, the clothes I wear,
Are all bestowed by Thee.
2. Kind angels guard me every night
As round my bed they stay;
Nor am I absent from Thy sight
In darkness or by day.
3. My health and friends and parents dear
To me by God are given;
I have not any blessing here
But what is sent from Heaven.
4. Such goodness, Lord, and constant care
A child can ne’er repay;
But may it be my daily prayer
To love Thee and obey.
157 107
1. Mujje mwebaze Mukama
Mwenna beyalokola
Mwolese ekitiibwa ky’oyo
Eyatonda ffe ffenna
Okuva edda, n’edda lyonna
Ye yabeerera yekka.
2. Ennyanja nga tennabaawo
Newankubadde ensi
Yesu Mwana wa Katonda
Ye yakkiriza okufa
Alyoke atununule ffe
Mu bibi byaffe byonna
3. Kaakano eyo mu ggulu
Atulongosereza
Ebifo eby’okukbeeramu
Bulijjo mu maaso ge
Mu nsi tulina ennaku
Eri ssanyu gyereere
4. Bonna baamutendereza
Mu ggulu era mu nsi
Bamalayika n’abantu
Bamugulumiza nnyo
Katonda wa bakatonda
Kkiriza ettendo lyaffe
HOLY COMMUNION PART 2
BY:SSABADIIKONI VEN.CAN.JONATHAN KISAWUZI
OKUSABA N’OMUKISA BY THE BISHOP
OKULAMUSA BY OMUKUBIRIZA JJANYI C.O.U
OKUSONDA SENTE Z’OKUZIMBA EKKANISA EMPYA
RECESSION HYMN 287 226
1. Ekitiibwa kyo kinene
Mununuzi waffe
Emimwa gy’abantu bonna
Giyimba ettendo lyo
2. Erinnya lya Yesu ddungi
Limalawo okutya
Lituleetera obulamu
N’emirembe munda
3. Amaanyi g’ekibi gonna
Yesu Yagamenya
Ffe abaali abasibe
Twafuuka ba ddembe!
4. Buli akkkiriza Yesu
Alirokolebwa;
N’abo abaafiira mu ye
Kaakano balamu!
5. Muwulire mmwe abanaku
Nammwe bakassiru;
Bwemunaasembera gyali
Munnawonyezebwa
6. Mukama waffe ow’ekisa
Tukwegayirira;
Otuyigirize ffenna
Okukusuutaanga
No comments:
Post a Comment