OKWOGERA KWA RT REV DR. JAMES BUKOMEKO KWAKOZE NGA ATUUZIBWA
N'OKUTIKKIRWA NG'OMULABIRIZI W’OBULABIRIZI BW’E MITYANA OW’OKUTAANO (5TH BISHOP OF MITYANA ANGLICAN DIOCESE) KU SSANDE NGA 2 FEBRUARY 2020 MU LUTIKKO Y’OMUTUKUVU ANDEREYA E NAMUKOZI
Katonda mulungi ekiseera kyonna era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna (Zzabuli 107:1)
OKWANIRIZA MU BUFUNZE
Ntwala omukisa guno okwaniriza ab’ebitiibwa mwenna abali wano:
Ow’ekitiibwa ennyo Pulezidenti wa Uganda n’abebitiibwa abalala bonna okuva mu Gavumenti ya Uganda;
Kitaffe mu Katonda The Most Rev. Stanley Ntagali, Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, n’abalabirizi bonna wamu n’abakulembeze b’ekannisa abalala;
Ssaabasumba wessaza ekkulu erya Kampala His Grace The Most Rev. Cyprian Kizito Lwanga, n’Omusumba wa Kyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa.
Ow’ekitiibwa Katikkiro wa Buganda n’abakulembeze abalala bonna okuva mu Gavumenti ya Buganda.
Katuukiro wa Busoga N’’abakulembeze abalala okuva mu Bwakyabazinga.
Jjajja Gabunga n’ab’emmamba bonna.
Abakrisitaayo bonna abali wano, n’abenzikiriza endala mwenna, bannabyamizannyo n’okusingira ddala club yange gyempagira Mukwano gwabangi Express FC, wamu n’abo bonna abagoberera omukolo guno ku mutimbagano gwa internet n’emikutu gy’emawulire emirala gyonna.
Mbasaba mukkirize okulamusa kwange okw’ekikulisitaayo nti
“Mukama yeebazibwe”.
OKULAMUSA
Ab’oluganda mu Kristo,
Ntwala omukisa guno okubaaniriza era n’okubalamusa mu Linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. Nina essanyu lya nsusso okulaba nti muzze okubaawo nga abajulizi okulaba nga Ntuuzibwa n’Okutikkirwa nga Omulabirizi w’Obulabirizi bw’Emityana ow’okutaano (5th Bishop of Mityana Anglican Diocese).
Baibuli ekyogera lwatu nti Omulabirizi abeera musumba wa ndiga (1Tim, Abafiripi1, Ebikolwa by’Abatume) era ng’alina obuvunanyizibwa okulabirira ekisibo ekyo Mukama waffe kyeyegulira n’omusaayi gwe ogw’omuwendo omungi. N’olwekyo, okubeerawo kwammwe kumpa amaanyi nti omusumba ono mu mwagala.
Bwenategeezebwa nti nali nnondeddwa okuba Omulabirizi, nakankana kubanga buno obuvunanyizibwa si butono. Naye okubeerawo kwammwe mwenna, nnina essuubi nti Mukama atuyise okujja okuweereza Ekkanisa ye.
EBITONOTONO EBIKWATA KU BULAMU BWANGE
Erinnya lyange nze James Bukomeko. Nazaalibwa ku lunaku lw’abatukuvu bonna nga 1 November 1968 mu disitulikiti y’e Luweero. Nze muggalanda mu famire ey’abaana kkumi n’ababiri. Nga Bakadde bange be bagenzi Yonasani Kijjo ne Alice Janet Nabyonga Kijjo. Ku luuyi olw’ebyenjigiriza, nasoma era nenfuna amabaluwa gano wammanga:
Provincial certificate in Theology okuva mu Uganda Marytrs Seminary Namugongo
a Postgraduate Diploma in Human Resource Management okuva mu Uganda Management Institute – Kampala.
A Bachelor of Education and a Diploma in Education okuva mu Nkumba University – Entebbe.
An Executive Certificate okuva mu Hertfordshire University – UK
A Master of Divinity degree okuva mu Uganda Christian University – Mukono.
A Doctorate – honoris causa, okuva mu the London Bridge Business School – UK.
OKUYITIBWA KWANGE MU BUWEEREZA
Nnakkiriza Mukama waffe ng’Omulokozi wange, nenfuuka omulokole ku myaka 21. Nassibwawo ng’omudiikoni era n’enjawulwa ng’Omukadde w’Ekkanisa mu 1994. Mpeerezza mu bifo ebyenjawulo mu Bulabirizi bw’e Namirembe, omwo nga mwe muli obusumba buno wammanga:
Kireka Parish
1994 – 1997
St. John’s Entebbe
1998 - 2000
Namasuba Parish
2001 - 2007
Kansanga Parish
2008 – 2009
Namirembe Cathedral
2009 – 2010
Maganjo Parish
2010 - 2013
Nansana Parish
2014 – 2019
AMAKA GANGE
Mu 1996, nagattibwa ne munnange Rose. Katonda atuwadde ekirabo ky’abaana bataano.
Babirye Juliet Nansubuga
(Muyizi ku U.C.U nga asoma
Diguli mu Busomesa)
Nakato Julian Namutebi
(Muyizi ku U.C.U ng’asoma
mateeka)
Grace Namubiru
(Ali mu S.4 Kings College Buddo)
Alice Janet Nabukomeko
(Ali mu S.1 Kings College Buddo)
David Mwesigwa Nsubuga
(Ali mu P.6 mu Sir Apollo
Kaggwa, Mengo)
Bawala baffe ababiri abaggulanda balongo. Eno y’ensonga lwaki mikwano gyange eka bampita Ssaalongo. Famire eno ebadde mpagi luwagga mu buweereza bwange okumala emyaka 24. Era tugenda kukolera wamu omulimu gw’obulabirizi. Mukyala wange ne famire yonna balina essanyu lya nsusso okubeera mu buweereza bw’ekkanisa mu kiseera kino.
Mbasaba munzikirize nyanjule bakadde baffe, Taata ne Maama Kasozi okuva e Kabulasoke mu Gomba nga bano be bakulu abazaala mukyala wange omwagalwa. Bakadde bange abageenzi Omwami n’omukyala Kijjo baba kubaawo kyandibasanyudde nnyo okulaba ku lunaku luno, nsaba tusiriikirire tujjukire abakulu abo. Naye era nsaba bakadde bange abalala abaliwo nga bakulembeddwa Dr. Adam Kimala okuyimirira mubaanirize.
|
Famire ya Bishop Bukomeko |
OKWEBAZA
Okusooka kwa byonna, neebaza Mukama Katonda olw’okumpita mu buweereza mu Kkanisa ye. Era neebaza ne ssekwebaza yenna Abalabirizi bonna abaatusooka okuweereza mu Bulabirizi bw’e Mityana okuva lwe bwagunjibwawo mu 1977 era nebutongozebwa eyali Ssaabalabirizi wa Uganda, Rwanda Burundi ne Boga Zaire, the Most Rev. Silvanus Wani.
N’olwekyo, kambeebaze nga ntandika n’ooyo gwenziridde mu bigere:
The Most Rev. Dr. Stephen Kazimba Mugalu 2008 - 2020
The Right Rev. Kapoliano Bukenya
2002 - 2008
The Right Rev. Wilson Mutebi
1989 - 2002
The Right Rev. Yokana Mukasa
1977 - 1988
Sirina bigambo bimala kwebaza Balabirizi abo olw’obukulembeze bwabwe wamu n’okukuza Obulabirizi buno. Era njagala okwebazaamu ak’ensusso Kitaffe mu Katonda Ssaabalabirizi Omulonde, the Most Rev. Dr. Kazimba Mugalu akyasembyeyo okukulembera kaweefube w’okuddaabiriza n’okugaziya Lutikko eno amata obuta.
Lutikko ya St. Andrew’s Cathedral kati efuukidde ddala ekyo kyeyalibadde. Kino kikulu nnyo kubanga mwemuli Cathedra (eno y’entebe omutuula Omulabirizi).
Era njagala okwebaza ennyo abaawule bonna n’abakrisitaayo mu Bulabirizi bw’e Mityana olw’obuweereza obw’ettendo bwemuweereza abantu ba Katonda.
Era neebaza ebitongole byonna eby’Obulabirizi wamu n’ebibiina omuli Abaami abafumbo (FU), Abakyala abafumbo (MU), Abakazi n’Abasajja abakristaayo (CWF & CMF), Chaplaincy ne Sunday schools n’ebibiina ebirala olw’omulimu ogw’ettendo gwebakola mu bitundu ebitali bimu eby’Obulabirizi.
OKWOLESEBWA KWANGE MU BUWEEREZA BW’OBULABIRIZI
Ekyamateeka Olwokubiri 6:4-9
“4. Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu. 5. Era onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna. 6. Era ebigambo bino byenkulagira leero binaabanga ku mutima gwo. 7. Era onoonyiikiranga okubiyigiria abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga. 8. Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo era binaabanga eby’okukyenyi wakati w’amaaso go. 9. Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy’ennyumba yo ne ku nzigi zo.”
Nina essuubi nti Mukama Katonda atuyise okujja okukulembera abantu be mu kutumbula etteeka ekkulu nti “Yagala nga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, era n’amaanyi go gonna” mu Bulabirizi bwonna n’okweyongerayo. Yesu atuwa amagezi okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda olwo ebirala byonna byetuyaayaanira bijja kutwongerwako (Mat. 6:33)
EMBEERA Y’OBULABIRIZI BW’E MITAYANA MU KISEERA KINO
Obulabirizi bw’e Mityana bukola ekitundu eky’Ekkanisa y’abantu bonna era ebuna wonna (world-wide Anglican Church). Okubalirira okukwata ku nzikiriza ya Anglican kwewuunyisa. Era kino kye kifaananyi wammanga.
Obungi bw’Abakrisitaayo (Anglicans)
Ekitundu
Omuwendo gw’abakristaayo (Anglicans)
Mu nsi yonna Obukadde 86
Africa Obukadde 51
East Africa Obukadde 26
Uganda Obukadde 14
Mityana Emitwalo nsanvu mw’ebiri 72
Omuwendo gw’abakristaayo aba Anglican gweyongera okulinnya mu Ssemazinga wa Africa, Asia ne Latin America. Wabula gugenda gukendeera ku Ssemazinga wa Bulaaya n’Obukiika kkono bw’Amerika.
Wabula obungi bw’abantu mu Uganda bweyongera mu ngeri y’emu n’omuwendo gw’abakristaayo nagwo gweyongera. N’olwekyo Omulimu gw’Obulabirizi nagwo guteekeddwa okweyongera okukula.
Obulabirizi bw’e Mityana buli mu disitulikiti zino wammanga;
Disitulikiti ezikola Obulabirizi bw’e Mityana
Disitulikiti
Obungi bw’abantu
Mityana 328,964
Mubende 684,337
Kyankwanzi 214,693
Kiboga 148,218
Omugatte 1,376,212
Mu kubalirira okwangu, abantu abawera ebitundu 52% mu disitulikiti ennya ezikola Obulabirizi bakrisitaayo aba Anglican. Abo be bantu betuyitiddwa okuweereza.
Obulabirizi buteeseteese empeereza yaabwo mu Busaabadiikoni mwenda wamu ne Dinare ya Lutikko emu. Mulimu obusumba 68 wamu n’obusumba obwa minsane 20. Tujja kukola kyonna ekisoboka okulaba nga abakristaayo mu bifo bino byonna baweeerezebwa bulungi era nga baleetebwa mu kwagala Katonda n’emitima gyabwe gyonna, n’emmeeme zaabwe n’amaanyi gaabwe gonna. Tujja kukola butaweera ku nsonga eno kubanga tukimanyi nti mu mwaka gwa Mukama waffe 2002, abantu abawera ebitundu 36.7% mu Uganda baali bakristaayo aba Anglican. Naye ku nkomerero y’omwaka 2014 baakendeera nebatuuka bitundu 32%. Okukendeera kw’ebitundu 4.7% kiraga nti tulina okusoomoozebwa okunene ennyo okukuuma endiga awatali kubuzaako n’emu. Era tulina okuzuula ezo ezibuze. (Lukka 19:10).
Ab’enzikiriza y’abakatuliki be bakulembedde n’ebitundu 39.3%, nebaddirirwa abakristaayo aba Anglican mu kifo eky’okubiri n’ebitundu 32% olwo mu kifo eky’okusatu ne mubaamu abasiraamu n’ebitundu 13.7% abo nebaddirirwa aba Pentekoote n’ebitundu 11.1%. aba Seventh Day Adventists bakola ekitundu 1.7%. Aba Baptist bakola ekitundu 0.3% olwo aba Orthodox nebakola ekitundu 0.1%. So nga abo abali mu nzikriza endala bakola ekitundu 1.5% (okugeza Bahai, Hindus, Owobushobozi n’abalala). So nga abasinza mu nzikiriza ez’obuwanga bakola ekitundu 0.1% ekya bannayuganda. Ate abo abagamba nti tebalina nzikiriza yonna bakola ekitundu 0.2%.
Emiwendo gino gitutegeeza nti tetulina kwesulirayo gwa nnagamba oba okweyibaala wabula tulina kukola butaweeera okulaba nti abantu abali mu Bulabirizi bwaffe bakkiriza era baagala Katonda n’emitima gyabwe gyonna, n’emmeeme zaabwe n’amaannyi gaabwe gonna.
OKUSSA ESSIRA KU BUWEEREZA BWAFFE NG’ABALABIRIZI
Nga twesigama ku ebyo waggulu, tujja kukola butassa mukka, butassa mwoyo okulaba nti essira tuliteeka ku nsonga zino wammanga:
Okubuulira Ekigambo kya Katonda
Abantu okukkiriza n’okwagala Katonda n’emitima gyabwe gyonna, n’emmeeme zaabwe n’amaanyi gaabwe gonna, Enjiri eteekeddwa okubuulirwa. Obulabirizi bujja kutendeka abaawule n’abakristaayo olwo wabeewo eggye ery’abakristaayo abanaasobola okubuulira, okubudaabuda, okuyigiriza wamu n’okusimba amakanisa. Tujja kukolera wamu n’abaawule n’abakristaayo okubunyisa ekigambo kya Katonda eri abantu aba buli mutendera. N’olwekyo, bwetukuyita tokakanyaza mutima gwo kubanga kino kiragiro kya Katonda.
Okunyweza Obuweereza obujjuvu
Baibuli egamba nti Yesu yagendanga mu bibuga ne mu byalo nga ayigiriza, abuulira, awonya, n’okuliisa abalumwa enjala era nga e akola n’okubudaabuda (Mat. 14:13-21; Mat 15; Yok 11:17-34). Tulina essuubi nti Obulabirizi bujja kukola bino byonna n’amaanyi okusobola okumalawo emize emibi omuli: (a) okumala gatta bantu awatali nsonga; (b) Enguzi; (c) okulwanagana; (d) okusiiwuuka empisa (e) okuwamba abantu wamu n’emize emibi emirala tusuubira nti bijja kukendeerera ddala.
Tujja kunyweza enkolagana n’ebibiina bino, UPMB, Unicef, Uganda Joint Medical Stores, Inter Religious Council ne UJCC, Bible Society of Uganda, AEE, Life Ministry, Child Evangelism Fellowship, Rooted In Jesus, TLT wamu ne Ndejje University n’ebirala. Tujja Kugenda mu maaso nenkolagana n’Obulabulabirizi, N’amakanisa Wano N’ebweru w’eggwanga agalina omukago n’Obulabirizi Bw’e Mityana.
Okutendeka Abaawule n’Ababuulizi mu nkozesa ya tekinologiya w’empuliziganya (IT)
Ebiseera bikyuse. Ensi mu kiseera kino etwetaagisa okukozesa tekinologiya omupya. Ensangi zino ensi yonna etunuulidde enkyukakyuka ssinziggu ey’okuna mu by’amakolero (fourth industrial revolution). Tujja kutendeka abaawule abaggya wamu n’okuddamu okutendeka abo abaweereza mu kiseera kino wamu n’ababuulizi basobole okubeera nga bagya bulungi mu mulembe guno mu Bulabirizi. Tujja kulaba nti abaawule n’ababuulizi bakozesa omutimbagano gwa yintaneeti okugabana Amawulire amalungi, era kijja kubetaagisa okukozesa pulojekita n’ebyokulabirako okusobola okunnyikiza ebyo byebanaabanga boogerako eri abakristaayo. Obulabirizi bugenda kutambulira ku Tekinologiya w’empuliziganya (IT).
Eky’okubiri, tujja kwongera okutendeka abaawule n’ababuulizi mu by’obuweereza (theological training). Twagala nnyo abaweereza baffe okubuulira n’okwogera nga baliko obumanyirivu ku musingi ogw’enzikiriza yaffe. Omusingi ogw’enzikiriza yaffe lwe lwazi okusimbiddwa okukkiriza kwaffe. N’olwensonga eyo, tujja kuteekateeka emisomo, ensirika n’enkuŋŋaana ennene ku buli mutendera okusobola okuzimba tiimu enywevu.
Okukuŋŋaanya ebikozesebwa
Obulabirizi bw’e Mityana okufaananako n’obulabirizi obulala mu ggwanga bulina ebyetaago nkumu. Kino kyetaagisa Obulabirizi okukola ku byetaago ebyo. Ebyetaago bino byetaaga okubaawo okwebikozesebwa. Ebikozesebwa bino biteekeddwa okukuŋŋaanyizibwa. Obulabirizi bujja kiteekawo pulojekiti okusobola okukuŋŋaanya ensimbi. Era tujja kwagazisa abakristaayo okutandikawo ebibiina eby’okutereka n’okwewola (SACCO) mu buli Busaabadiikoni. Era tusuubira okutondawo ensawo ey’enjawulo okusobozesa Obulabirizi okusasulira emirimu egitali gimu, okukwana emikwano emipya munda n’ebweru w’Obulabirizi. Kino kijja kussibwa ku mwanjo.
Tujja kutumbula n’okugaziya pulojekiti eziriwo wamu n’okutandikawo empya. N’olwekyo nkubiriza Abakristaayo mwenna okuva mu Bulabirizi bw’e Mityana n’ebweru waabwo okutusabira n’okutuyamba buli lwetunaaba tubatuuseeko.
Obulabirizi bujja kigunjaawo enkola ez’okukuŋŋaanyizaamu ensimbi nga zino zijja kuzingiramu Abakristaayo bonna mu Bulabirizi n’ebweru waabwo.
Bwetunaaba tutandise ku nteekateeka ezo, nina ekirowoozo nti n’okulamusa kwaffe kuteekeddwa okukyuka. Singa omuntu akubuuza nti “oli otya?” okuddamu kubeere nti “ŋŋenda mu maaso mu linnya lya Yesu”! Nsaba tubeere n’obulamu obugenda mu maaso. Ekyo Mukama kyatutumye okukola. Tetuteekeddwa kwekubagiza nakunakuwala.
Okukulaakulanya ebitongole
Tujja kukulaakulanya ebitongole era muno mujja kuzingiramu okusimba amakanisa amapya, okuzimba ebizimbe n’ebintu ebikozesebwa, okukulakulanya abakozi wamu n’okunyweza emisingi n’obulombolombo bw’Ekkanisa y’abantu era ebuna wonna (Anglican Church). Tujja kutumbula eneeyisa y’abaweereza era tujja kulaba nti okukwasisa empisa zaabaweereza n’abakozi b’ekkanisa abalala ziyita mu mitendera egiriwo buli lwe wanaabangawo obwetaavu.
Obuweereza mu masomero:
Amasomero agaatandika ku musingi gw’e Kkanisa y’entabiro y’ebyenjigiriza. Okwolesebwa kwaffe kwe kutumbula amasomero ag’obwannayini wamu n’ago aga gavumenti ku mitendera gyonna. Obuweereza mu masomero gonna bujja kutumbulwa olwo ekitiibwa ky’ekkanisa ya Anglican kyolesebwe mu maaso g’abaana abato.
Okukuuma obutonde bw’ensi/Eby’obulimi n’obulunzi
Obulabirizi buno bulina omukisa okuba n’ettaka era abakristaayo abasinga obungi balimi/balunzi, tujja kukolagana n’ebitongole bya gavumenti wamu ne bassekinnoomu kutumbula obulimi n’obulunzi wamu n’okukuuma obutonde bw’ensi. Tujja kusimba emiti era tujja kulwanyisa nnyo enkozesa embi ey’entobazzi nga tusomesa abantu baffe ku bubi obuli mu ekyo. Nga tuyita mu bitongole by’obulabirizi, tujja kulaba nga tutumbula ennima/ennunda ey’omulembe, era tujja kwagazisa abalimi/abalunzi okwegatta mu bibiina by’obwegassi wamu n’okuyambibwa. N’olwekyo nkubira gavumenti omulanga okutuduukirira ne tulakita n’ebikozesebwa mu bulimi/obulunzi ebinaanyamba mu kaweefube ono.
Ebitongole by’ekkanisa ebitali bimu
Nga tuyita mu bitongole by’ekkanisa ebitali bimu, tujja kukola kitole okuyamba abavubuka, abakazi n’ebitongole ebirala okulwanyisa obutabanguko obwesigama ku kikula ky’abantu, okutendeka abasajja obukodyo obupya okubeera abakulembeze abalungi mu maka gaabwe wamu n’okuzimba ebyenfuna mu maka gaabwe n’ekkanisa.
Okukola ku kusoomoozebwa kw’ebyobulamu mu Bulabirizi.
Waliwo okusomoozebwa okuwerako mu by’obulamu mu Bulabirizi. Emiwendo gyetufuna giraga nti mu kiseera kino abantu abawera 40,000 mu Bulabirizi be babonaabona n’akawuka akaleeta mukenenya. Mu Uganda abaana abakunuukiriza mu bukadde 2.5 bamulekwa. Era abamu ku bamulekwa bano bali mu Bulabirizi bw’e Mityana. Okusoomoozebwa okulala mu by’obulamu, bwe bulwadde bw’entunnunsi (puleesa), ssukaali n’omusujja gw’ensiri. Obulabiriz i buwulira omugugu ogw’okulaba nti bubaako ne kyebuwaayo kusobola okulongoosa embeera y’ebyobulamu eri abantu baffe bonna. Tujja kwagazisa abakristaayo baffe okugemesa abaana baabwe wamu n’abantu abakulu okugendanga mu malwaliro okwekebeza. Ekimu ku bintu kyensinga okwagala ennyo gy’emizannyo era ndi muwagizi lukulwe owa Mukwano gw’abangi (Express F.C) wamu ne ttiimu eneetera okuwangula Premier League (Liverpool). Nga ntandikira ku bakulembeze b’ekkanisa, Obulabirizi bujja kussa nnyo essira ku kukola dwiiro era kano kafuukire ddala akalombolombo mu bulamu obwa bulijjo eri abantu bonna. Njagala okulaba nga mu Bulabirizi tulina abakristaayo bali fiiti era nga balamu bulungi. Mukama ayagala abakiriza abali fiiti (1 Cor. 9:27).
Okufuula emirimu gy’Obulabirizi okuba nga ku byuma bikalimagezi (Automation of Diocesan operations)
Twagala okulaba nga enkola z’obulabirizi zonna ziri ku byuma bikalimagezi. Kino kijja kuyamba Obulabirizi okusobola okukozesa obulungi obubaka bwonna n’amawulire mu ngeri enuŋŋaamu. Bwetuba tuteekateeka, tukuŋŋaanya ebikozesebwa n’ebirala kiba kyangu singa abantu bafuna mangu obubaka bwebeetaaga. Emiwendo gy’abakristaayo, okubatiza, okussaako emikono, abagattiddwa, pulojekiti z’ekkanisa, emikolo gy’ekkanisa, obubaka, enteekateeka z’okubuulira enjiri n’ebirala byonna biteekeddwa okuba nga bifunika butereevu okuva ku mutimbagano gw’obulabirizi (Diocesan website). Ebirala nga okusoma ebyawandiikibwa buli lunaku, essaala, enjiri biteekeddwa okubeera ku mutimbagano. Abakristaayo bateekeddwa okuba nga basobola okubifuna mu bwangu.
OKUSIIMA
Nga nfundikira, ntwala omukisa guno okwebaza omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti wa Uganda olw’obuyambi obutatadde bwawa Obulabirizi bw’e Mityana wamu n’obuyambi bweyatuwa okulaba nti omukolo guno gutambula bulungi.
Era neebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Owekitiibwa Katikkiro n’Obwakabaka bwa Buganda okutwalira awamu. Nyongera okusiima enkiiko ezenjawulo wamu n’abakristaayo bonna okuva mu Bulabirizi buno Mityana, Namirembe, Luwero n’Obulabirizi obulala, abakoze obutaweera okulaba nti bateekateeka okutuuzibwa n’okutikkirwa kwaffe kuno okw’ettendo. Bannange temujjanga okwo! Ddala ddala mbagamba nti okufuba kwammwe si kwa bwereere.
Era neebaza baganda baffe okuva mu Keleziya Katolika naddala Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, ne muganda wange Rt. Rev. Anthony Zziwa Omusumba w’Essaza lya Kiyinda Mityana. Mwebale nnyo okunnyaniriza n’okunjozaayoza bwenali nga n’akalondebwa okuba Omulabirizi. Mbasuubiza nti tujja kukolagana bulungi mu mulimu guno omunene gwetulimu ogw’okuzimba Obwakabaka bwa Katonda.
Era neebaza Jjajja ffe omukulu w’ekika ky’emmamba Gabunga, n’abataka bonna abakulu mu kika ky’Emmamba, mwebale nnyo obuwagizi bwammwe n’okwagala.
Nsiima nnyo Obulabirizi bw’e Namirembe, gyempeerezza okumala emyaka 24, tunajjukiranga oluganda n’obumu bwetubadde nabwo. Mukama wange Omulabirizi aliwo kati Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira ne Maama Faith Luwalira, Rt. Rev. Samuel Balagadde Ssekadde ne Maama Allen Ssekadde abanteekawo n’okunjawula ng’omukadde, mwebale nnyo okutulera n’okututuusa ku mutendera guno. Ekitiibwa kibe eri Katonda.
Kansembyeyo mukyala wange omwagalwa, Rose, abaana baffe, bakadde baffe, ab’oluganda, abako, emikwano, ne baweereza bannange mwebale nnyo okutusabira wamu n’obuyambi bwammwe. Okusooka kwa byonna mutukkiriza okuweereza mu kkanisa ebbanga lino lyonna. Eky’okubiri, mwatukkiriza okutwala obuvunayizibwa buno obw’okuba Abalabirizi. N’olwekyo tubasaba mwongere okutusabira. Tumanyi nti oyo atuyise mwesigwa era ajja kutuukiriza ekyo kyetuteekeddeteekedde nga ayita mu buweereza bwaffe mu Bulabirizi bw’e Mityana (1 Abassaselonika 5:24).
OKUFUNDIKIRA
Tujja kukola kyonna ekisoboka okulaba nga tutuukiriza ekiruubirirwa kyaffe eky’okutuusa obuweereza obujjudde mu Bulabirizi nga tuyita mu bitongole omunaana omuli; (a) eby’obulamu; (b) eggwanika; (c) ebyenjigiriza, (d) ebyenjiri, (e) administration, (f) abavubuka n’abaana, (g) Ebyettaka n’obugagga bw’ekkanisa, (h) Planning and Development. N’ebitongole ebyo, tujja kutuukiriza okwagala kwa KATONDA naddala singa abantu bajja “okwagala Katonda n’emitima gyabwe gyonna, n’emmeeme zaabwe n’amaannyi gaabwe gonna”.
Emikisa gya Katonda n’ekisa kye bibeere nammwe mwenna.
+Rt. Rev. Dr. James Bukomeko
OMULABIRIZI WA MITYANA OW’OKUTAANO